
Kyaddaki omubaka w’e Rubaga South Kato Lubwama abikudde ekyama lwaki omuyimbi Omumerika, Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian balambudde Uganda era essaawa yonna bagenda kuweebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi bya Uganda.
Lubwama agamba nti gye buvuddeko omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yali mu ggwanga erya America era yayogera ebigambo bingi ddala ebiyinza okusanyalaza ebyobulambuzi.
Mungeri y’emu Kato Lubwama agamba nti Gavumenti yabadde eteekeddwa okupangisa Kanye West okukyalira Uganda okusobola okulongosa ekifaananyi ekibi ekyasigibwa Bobi Wine ng’ali mu ggwanga erya America.

Omwezi oguwedde ogwa September, Kanye West n’omukyala Kim Kardashian bali mu Uganda era balambudde ebintu ebyenjawulo omuli n’okukyalirako omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe.
Kinnajukirwa nti Bobi Wine yagenda mu ggwanga erya America okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okukubwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018 bwe yali awerekeddeko mukwano gwe Kassiano Ezati Wadri okunoonya akalulu k’obwa Palamenti bw’ekibuga Arua.
Wadde Wadri yawangula akalulu, ye ne banne omuli Bobi Wine, Paul Mwiru omubaka we Jinja East, Gerald Karuhanga ow’e Ntungamo n’abalala abasukka 30 bagulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe kuba nga 13, August, 2018 mu kakyankalano mu kibuga Arua, kavaako emu ku mmotoka ya Pulezidenti Yoweri Museveni okukubwa amayinja ndabirwamu neyiika.