
Munnakatemba era omubaka w’e Rubaga South Kato Lubwama avuluze abayimbi bannayuganda abeegwanyiza omulimu gwa Ambasadda w’ebyobulambuzi bya Uganda.
Sabiti eno, Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, yalangirira nti omuyimbi Omumerika, Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian baakudda mu Uganda mu February wa 2019 era bagenda kuwebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi okuyambako okutunda Uganda mu nsi yonna n’okusingira ddala mu ggwanga erya America.
Omubaka Kato Lubwama agamba nti Kanye West n’omukyala Kim Gavumenti yakoze bulungi nnyo okubasembeza kuba balina obuwagizi bangi nnyo n’abagoberezi era bagenda kukola nnyo mu byobulambuzi.
Mungeri y’emu agambye nti, abayimbi bannayuganda tebakoze kimala okumanyika mu nsi yonna era tebayinza kutunda Uganda okusinga Kanye.

Ku nsonga eyo, awadde eky’okulabirako nti omuyimbi Jose Chameleone amanyikiddwa nnyo mu East Africa kyokka mu Africa yonna tamanyiddwa era Gavumenti teyinza kumweyambisa ku nsonga ekwata ku nsi yonna.
Lubwama agamba nti Chameleone asobola bulungi nnyo okulondebwa ku bwa Ambasadda mu Uganda oba East Africa, ekiraga nti abayimbi ba Uganda bakyali ku mutindo gwa wansi nnyo.
https://www.youtube.com/watch?v=4C8qDxuR2JE