Ssaabavvulu Balaam Baruhagare abikudde ekyama nti Bebe Cool alina ekivvulu okumukulisaayo mu ggwanga erya America.

Balaam bwabuziddwa lwaki yasubiddwa okutegeka ekivvulu ky’oluyimba Kyarenga olwa Bobi Wine, agambye nti tayinza kutegeka buli kivvulu kuba mu Uganda abategesi b’ebivvulu bangi nnyo omuli Abtex.

Mungeri y’emu agambye nti agenda kutekateeka ebivvulu ebyenjawulo omuli ekya Bebe Cool okumwaniriza okudda mu Uganda okuva mu America n’okutongoza ennyimba za Pulezidenti Museveni.

https://www.youtube.com/watch?v=W_4Ei-wblIU