
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agamba nti kikyamu Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okugamba nti ab’oludda oluvuganya bebakulembeddemu okutabangula e kibuga Kampala.
Bobi agamba nti tewali bukakafu bulaga nti waliwo abavubuka abaweebwa ssente, okwokya Kampala.
Bobi agamba nti tebalina ssente zebasobola kuwa bantu kyoka bannayuganda okwagala enkyukakyuka y’emu ku nsonga lwaki abantu bakola buli kimu ekisoboka.
Bobi yabadde ku NTV mu Pulogulamu Mwasuze Mutya ekubirizibwa Faridah Nakazibwe, okutegeeza nti bannayuganda balina ebizibu byabwe kyoka Gavumenti eremeddwa okubikola era y’emu ku nsonga lwaki balemeddeko ku nkyukakyuka mu buyinza.