
Omuyimbi Sheebah Kalungi ayongedde okumatiza abantu nti y’omu ku bayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino Uganda.
Sheebah asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Mummy Yo, Beera Nange, Akkuse, Muwe, TOnzoleya, Nkwatako, Try My Love n’endala, ekimufudde omukyala owenjawulo.
Nga 30, November, 2018, Sheebah alina konsati y’oluyimba lwe “OMWOOYO” ku Africana mu Kampala kyoka wadde ali mu kwetegeka, asobodde okukola oluyimba olulala n’omuyimbi Aziz Azion.
Oluyimba lwa Mukwano era Anel Tunes akwasaganya okutereeza amaloboozi, asemberedde okulumaliriza.