Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddemu omwasi ku nsonga z’okukuba muyimbi munne Bebe Cool obucupa gye buvuddeko.

Bobi Wine agamba nti tawagira mbeera yonna ey’okutwalira amateeka mu ngalo.

Bebe Cool
Bebe Cool

Ku nsonga y’ekivvulu Kyarenga, Bobi agambye nti buli muntu yenna waddembe okwambala engoye zayagala kuba tewali muntu yenna ayinza kubalemesa.

Ate ku nsonga y’obyokwerinda, Bobi Wine agambye nti bayungudde abasirikale bangi ddala okunyweza ebyokwerinda ku mazzi, lukalu, okutangira omuntu yenna ayinza okutataaganya emirembe.

Ekivvulu kyatwaliddwa Busabala ku Lwomukaaga nga 10, November, 2018 era abayimbi bangi nnyo abagenda okuyimba.