Omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akolokose omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne famire ye okulemberamu okunyigiriza bannayuganda.

Bobi Wine agamba nti bannayuganda bangi nnyo bali mu mbeera mbi nga kivudde ku Pulezidenti Museveni okubanyigiriza.

Yoweri Museveni
Yoweri Museveni

Bwe yabadde ayogerako eri abatuuze b’e Masaka, Bobi Wine akowodde abantu bonna okwegata okulwanirira enkyukakyuka kuba Gavumenti eyongedde okubabinika misolo okwongera okubanyigiriza.

Olukungana lwetabiddwako abantu abenjawulo n’okusingira ddala ababaka ba Palamenti era Bobi Wine yalabudde abatuuze okukola ennyo okuggya Museveni mu buyinza mu 2022 kuba wasigadde emyaka 2 gyokka.