
Mu Uganda, Sheebah Kalungi y’omu ku bayimbi abeyongedde okufuna ssente mu kuyimba ku mikolo egyenjawulo omuli embaga.
Sheebah asobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ okulaga omukolo gw’embaga gweyabaddeko nga musanyufu nnyo era yawadde abagole essannyu.

Sheebah wadde alina ennyimba ezenjawulo omuli Tonzoleya, Nkwatako, Binkolera, Try My Love, Mummy Yo, Beera Nange, Akkuse n’endala, oluyimba lwe “Wonkona” lumufudde omuyimbi owenjawulo ku mikolo.
Bwe yabadde ku mbaga, oluyimba Wankoma lw’akyamudde abantu era abagole bakoonye omuziki okusinga abali mu kivvulu.