Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayongedde okulaga nti teyetaaga Bebe Cool mu bulamu bwange.

Bobi abadde ku laadiyo emu mu Kampala era bwabuziddwa nti ku Bebe Cool ne Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Museveni ani gw’ayinza okutwalako, alonze Museveni.

Bebe Cool
Bebe Cool

Bobi agambye nti yetaaga Museveni okusinga Bebe kuba Museveni balina okusisinkana ng’amukwasa obuyinza kyoka Bebe Cool talina kyayinza tamwetaaga.

Bobi Wine wadde y’omu kwabo abagala enkyukakyuka mu ggwanga, ebigambo bye biraga nti Museveni mulungi nnyo era eggwanga limwetaaga nnyo okusinga ku Bebe Cool.

Mungeri y’emu kabonero akalaga nti wadde Bebe Cool muyimbi era y’omu kwabo abaludde nnyo mu kisaawe ky’okuyimbi, Bobi Wine tayinza kumulowozaako.