Omuyimbi Sheebah Kalungi atabukidde Pulezidenti w’olugambo ku Bukedde TV Josephat Seguya lwa kuswaza nnyina.

Sheebah agamba nti ku mulundi gunno nga 30, November, 2018, maama we tagenda kumuleeta mu konsati y’oluyimba “Omwooyo” ku Africana mu Kampala kuba Seguya yamuswaza nnyo eri eggwanga lyona.

Seguya
Seguya

“Seguya wakwata maama wange ali mu myaka 65 n’omuteeka ku ttiivi mu pulogulamu y’olugambo ku myaka gye. Maama wange mumwesonyiwe, nze mumbereko kuba ndi mu mulimu gw’okuyimba naye mange alina emyaka 65 mumuleke, ayise mu bintu bingi nnyo” Sheebah bwatyo bwalabudde Seguya.

Mungeri y’emu alabudde Seguya nti “ssebo wayitawo era olina okunoonya mange omwetondere kuba kyewakola sikirungi kuba oli musajja mukulu, okwate ebyama b’omukyala byakumidde emyaka gwe obiteeke ku ttiivi”.