Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine awadde ezimu ku nsonga ekimukuumidde mu bufumbo bw’essannyu wakati we n’omukyala Barbie Itungo Kyagulanyi.

Bobi Wine agambye nti ebintu by’omukwano sibyangu era ekiwangazza obufumbo bintu byabuligyo.

“Abantu okwetegeera, okumanya munno kyayagala, obukakamu n’okusonyiwagana, byebiyinza okuyamba omuntu yenna okuwangaza omukwano gabwe”, Bobi bwatyo bwasobodde okulabula abantu ku nsonga z’omukwano bw’abadde ayogerako ne MC Kats owa NBS mu Pulogulamu After 5.