Kyaddaki omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ayanukudde ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu Kampala Godfrey Nyakana, okukomya okumuyisaamu amaaso.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Nyakana bwe yabadde ku NBS mu pulogulamu Morning Breeze, yagambye nti mu bulamu bwe talabangako Bryan White mu ggwanga lino ng’akola ebintu ebizimba eggwanga, Anywa bunywi mwenge era afaanagana omwenge.

I have never seen Bryan White anywhere in this country doing anything productive. He just drinks alcohol and looks like alcohol” Nyakana bwe yategezeza.

Godfrey Nyakana
Godfrey Nyakana

Wabula Bryan White amwanukudde mu bukambwe era agambye nti okugaana okuwa Nyakana ssente y’emu ku nsonga lwaki atandiise okumumanyira.

Bryan White nanyini kutandikawo ekibiina ekiyamba abantu ekya Bryan White Foundation okuyamba abantu, agambye nti kyewunyisa omuntu gwe baawasa ate okutandiika okumanyira abantu.

Mungeri y’emu agambye nti Nyakana tagwanidde kumuyita musajja wabula Mukyala Nyakana kuba omukyala yamuwasa.

Bryan White era agambye nti Nyakana tateekeddwa kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala kuba talina kyakoledde Bannakampala wadde okuyamba abavubuka okuleka okuwasa abakazi abakadde.