Eddy Kenzo owa Big Talent y’omu ku bayimbi mu Africa abasobodde okuwangula engule ezenjawulo, ekimufudde omuntu owenjawulo.

Nga 4, Janwali, 2019, Kenzo alina konsati ku Serena mu Kampala okujjaguza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba bukya atandika okuyimba mu 2008.

Wabula ng’omuyimbi omulala yenna, Kenzo mu myaka 10 afuniddemu ebirungi bingi ddala omuli emikwano mu nsi ezenjawulo n’okuwangula Award ezenjawulo.

Kenzo ng'awangudde BET
Kenzo ng’awangudde BET

Kenzo agamba nti mu Uganda ne East Africa ye muyimbi yekka alina Award ya BET, nze muyimbi okuva mu Africa alina Award ya Viewers choice, alina Award za Afrima, Nickelodeon Kids’s choice award, World Music Award n’endala.

Kenzo okuwangula Award ezo, kabonero akalaga nti mu Uganda ye muyimbi asinga okuyimba era Bebe Cool, Jose Chameleone, Bobi Wine, Sheebah Kalungi ne Diamond Platnumz okuva mu Tanzania balina okukola ennyo.