Omugagga Charles Olyem amanyikiddwa nga (Sipapa) alaze nti mu Uganda y’omu ku basajja abalina ssente wadde abamu ku bannayuganda bawakana.

Ensangi zino, sipapa avuganya n’omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White okulaga ssente mu ngeri ezenjawulo.

Sipapa mu mmotoka ze
Sipapa mu mmotoka ze

Bryan White wadde y’omu ku bagagga abalina emmotoka ez’ebbeeyi, yatandikawo ekibiina ekya Bryan White Foundation okuyamba abantu mu ngeri ezenjawulo kyokka sipapa wadde aludde nnyo mu kisaawe ky’okulaga eswagga, ssente aziragira mu kuvuga mmotoka za bbeeyi.

Mu kiseera kino, ayingizaawo emmotoka kapyata, werabireko.