Mwana mulenzi alaze omuyimbi Rema Namakula ‘Work’ ng’ali ku siteegi, ekiwadde abantu enseko.

Omulenzi yalinye ku siteegi nga Rema ayimba oluyimba ‘Touch My Body” era omwana yalaze nti alina Work kuba yasobodde okukwata ku mubiri gwa Rema wakati mu kuyimba bombi.

Sabiti ewedde bba wa Rema, Eddy Kenzo yayogera amazima nti alina obutakaanya mu famire ye nga kivudde ku bantu abaagala okumusuula mu kisaawe ky’okuyimba.

Ennyimba Rema zayimba ennaku zinno omuli “Siri Muyembe” kayinza okuba akamu ku kabonero akalaga nti ebintu tebitambula bulungi mu laavu yabwe ne bba Kenzo.

Okugenda ku siteegi nafuna abasajja abayinza okumuwa essannyu, kimwanguyira nnyo okumwerabiza ebintu byonna ebimutawaanya omuli n’obutakaanya wakati we ne bba Kenzo.