Ebitongole ebikuuma eddembe okuli Poliisi n’amaggye nga bayambibwako abantu babuligyo bakedde ku nnyanja Nalubaale okuddamu okunoonya emirambo gy’abantu abakyabuze.
Kigambibwa eryato eryakoze akabenje ku nnyanja lyabaddeko abantu abasukka mu 100, kyokka abantu 27 banunuddwa, ate Poliisi yakazuula emirambo 31.