Mwana muwala Sheilah Gashumba muwala wa Frank M.Gashumba owa Sisimuka Uganda, ayongedde okulaga nti ensimbi zimuyitaba.

Sheilah okulaga nti alina ssente, ezzeemu okuzimansa ku siteegi era ku mulundi gunno abadde azifuuwa munnakatemba MC Mariach.

Embeera yo, yabadde ku Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo mu kivvulu kya munnakatemba Alex Muhangi ekitegekebwa buli sabiti.

Wadde Sheilah akyali mwana muto, mu mwezi gumu asobodde okufuuwa ssente abantu abenjawulo omuli omuyimbi Jose Chameleone ne Khalifa Aganaga n’abalala, omugatte obukadde obusukka mu 10.

Kigambibwa alina omusajja mulenzi muto okuva mu ggwanga erya South Africa amutekamu ssente era y’emu ku nsonga lwaki azimansa mu ngeri bwetyo.

Engeri Sheilah gyeyeyisaamu ennaku zinno, eyinza okuba emu ku nsonga eyawaliriza kitaawe Frank M.Gashumba okumukuba gye buvuddeko ng’omuzadde okusobola okumutereeza.