Kyaddaki Omulangira David Kintu Wasajja avuddemu omwasi kuba y’omu kwabo abasimatuuse okufiira mu kabenje k’eryato nga bagenda okulya obulamu ku lunnaku Olwomukaaga ku nnyanja Nalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria.

Omulangira agamba nti yagudde mu mazzi kyoka ye teyabidde ng’abantu abalala.
Agamba nti bwe yagudde mu mazzi, waliwo ekintu ekyamukutte amagulu okumuzza waggulu.

Mungeri y’emu asambaze ebibadde biyitingana nti eryato lyabaddeko abantu bangi nnyo ekyaviriddeko akabenje akasse abantu abasukka 30.

Omulangira asangiddwa mu makaage ku kyalo Nagulu, Lungujja, agamba nti eryato lyabaddeko obuzibu era kirabika babadde baliggya mu galagi okanikibwa.

Mu Buganda, emisambwa mingi egikuuma ennyanja era kiwanuzibwa nti gisobola okwesalira nga mu ngeri eyo, gisobola okutta abantu mu ngeri ezenjawulo ne kirabika ng’akabenje.
Abamu ku bantu bagamba nti Obuganda bulina emisambwa era kiteberezebwa gyabadde girina okuwonya omwana wabwe Omulangira David Kintu Wasajja.
Abantu abakiririza mu buwangwa bagamba nti emisambwa minyivu kyokka bannadiini tebayinza kukikiriza kuba buli mbeera, kuba kusalawo kwa Katonda.
Mu mbeera eyo, ani mutuufu, emisambwa minyivu oba?