Ensonga z’omulangira David Kintu Wasajja okuba omu ku bantu abasimatuuse okufiira mu kabenje sabiti ewedde ku Lwomukaaga ku nnyanja Nalubaale, zongedde okutabula ababaka ba Palamenti.

Omulangira David Wasajja
Omulangira David Wasajja

Omubaka we Nakaseke South, Paulson Kasana Semakula Luttamaguzi asabye Omulangira Wasajja okuba eky’okulabirako eri abantu abalala kuba kyabadde kiswaza okubeera omu kwabo ababadde ku lyato n’abaana abato okulya obulamu nga tebambadde Life Jackets.

Omubaka Luttamaguzi agamba nti abantu abakulu mu ggwanga omuli n’omulangira Wasajja balina okuba eky’okulabirako eri abantu abalala.

Mungeri y’emu agambye nti wadde abantu bonna bagala okulya obulamu, naye kiswaza omuntu omukulu Omulangira Wasajja okwagala okutambula ne byanabiwala ebito, ebyambadde kkookoonyo okusaliza abasajja ate nga tebagala kwambala ‘Life Jackets’, ekintu ekyobulabe ku bulamu bw’omuntu yenna atambulira ku mazzi.