FRANK Gashumba owa Sisimuka Uganda naye avuddeyo ku nsonga z’eryato eryato eryasse abantu abasukka 30 ku nnyanja Nnalubaale ku lunnaku Olwomukaaga.
Gashumba agamba nti yafunye amawulire nti waliwo abagagga abalina abakyala kyoka babadde balese bakyabwe babwe awaka ne basalawo okugenda n’abakyala abalala.
Mu kwogera kwe, Gashumba agambye nti ennyanja teyagala bantu benzi era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki eryato lyakoze akabenje.

Abamu ku bantu abasimatuse okufa mu kabenje k’eryato mulimu Omulangira David Kintu Wasajja, Freeman Kiyimba, omuyimbi Iryn Namubiru n’abalala.