
Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ayanukudde abakulembeze abamulumbagana nga bebuuza obuyinza bwe mu kikwekweeto ekigenda mu maaso ku nnyanja Nnalubaale okuggyayo emirambo gy’abantu nga kyetabiddwamu ebitongole ebikuuma eddembe omuli Poliisi n’amaggye n’abantu babuligyo.
Eryato lyafuna akabenje ku Lwomukaaga ekiro nga lisimbudde ku KK beach e Ggaba, abantu abatamanyiddwa muwendo ne bagwamu era okusinzira ku Poliisi banunudde abantu 27 ate bakazuula emirambo 33.

Okuva ku Ssande, Omugagga Bryan White y’omu ku bantu abagumbye ku Mutima Beach, okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya emirambo era yataddewo emitwalo 10 ku buli mulambo gwe bagyayo.
Mungeri y’emu yalabiddwaako ku maato g’ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi ku mazzi nga banoonya emirambo ku Ssande, Mmande ne ku Lwokubiri.

Embeera eyo, yawaliriza omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko okwebuuza lwaki Bryan White yakulembeddemu okunoonya emirambo, lwaki yaduumira ebikwekweeto ku basirikale ate nga ye omuntu wabuligyo?
Ku nsonga eyo, Bryan White amwanukudde mu bukambwe era agambye nti ” abantu balina okulaba nti abantu abamu balina akakuku ku banaabwe kuba tebalabikako era ebigambo byabwe nti Bryan White akola ki, bigendereddwamu kunafuya bantu abayamba eggwanga. Abantu abo webaggya wanno bekubya ebifaananyi naye tebalina kye bayambye ku mbeera eriwo”.