
Poliisi mu Kampala egamba nti esigazza emmotoka 8 kwezo zeyajja mu luggya lwa beach ya KK e Ggaba nga z’ezimu ku z’abadigize abaafiira mu kabenje k’eryato ku nnyanja Nalubaale sabiti ewedde ku Lwomukaaga.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omuntu yenna ayagala okufuna emmotoka y’oluganda lwe alina okuleeta ebiwandiiko ebyetaagisa gamba ng’ebiwandiiko ebikakasa okufa kw’omuntu oyo.
Owoyesigyire era agamba nti emmotoka zonna zagiddwa ku beach ya KK era zonna zitekeddwa ku Poliisi y’e Ggaba okulinda bananyinizo oba ab’oluganda abalina ebiwandiiko oba obukakafu okuzitwala.