Wadde bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyavudde akabenje k’eryato akasse abantu abasukka mu 30, nate Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda avuddeyo n’ensonga endala.

Gashumba agamba nti ku lyato kwabaddeko omukyala alina ebisiraani era buli musajja gw’ayagala ateekeddwa okufa kyokka ye akyaliwo.

Gashumba wadde agaanye okwatukiriza amannya g’omukyala, agambye nti ku lyato yabaddeko era yasobodde okusimatuuka okufa.

Ebigambo bya Gashumba, kabonero akalaga nti omusajja yafudde mu kabenje k’eryato kyokka omukyala y’omu ku bawala abalungi abatigomya abasajja mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo era yasimatuuse wadde buli musajja gw’ayagala alina okufa.