
Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo okuwabula ekiyinza okuba nga kyavuddeko abantu abasukka 30 okufiira mu nnyanja Nnalubaale amanyikiddwa nga Lake Victoria.
Akabenje akaliwo akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga, abadigize abali basimbudde ku KK Beach e Ggaba okwolekera K Palm Beach e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono, eryato kwe bali basabalira okufuna obuzibu.
Abantu abasukka 27 banunulwa omuli n’omuyimbi Iryn Namubiru.
Wabula Kenzo agamba nti bannansi bateekeddwa okudda ku nnono okusosowaza ebyaliwo, Lake Victoria okuddayo mu mannya gaayo Nnalubaale, River Nile okuddayo eyitibwe Kiyira okusinga okutambuza amannya g’abazungu.
Mungeri y’emu agambye nti Nnalubaale eriko ebigikuuma, ebiyinza okuba nga byasunguwadde, okusalawo okutta abantu.