Fathia Namuddu omu ku bantu abasimatuka okufiira mu kabenje k’eryato ku nnyanja Nnalubaale lunnaku olwomukaaga yekokodde ekitongola ekya Poliisi okulimba abantu.

Okusinzira ku kitongole ekya Poliisi, balina omusirikale waabwe eyali ku KK Beach e Ggaba eyalabula abadigize abaali bagenda ku K Palm Beach e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono obutalinya lyato naye ne balemerako ekintu ekyatutte obulamu bwabwe mu kabenje.

Wabula Namuddu agamba nti tewali musirikale wa Poliisi yenna yalabula abantu era balina okukomya okulimba eggwanga kuba kiswaza ekitongole kyabwe.

Mungeri y’emu agambye nti tewali mudigize yenna yateekayo mutima okwekeneenya embeera y’eryato kuba ebirowoozo byali kulya bulamu.