Ssemaka Abubaker Kalungi myaka 47, avunaanibwa ogw’okutta eyali omuduumizi wa police ye Buyende ASP Muhammed Kirumira n’omuwala Esther Mbabazi Naalinya alajanidde akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kaveeyo kamuyambe kumbeera gyayisibwaamu mu kkomera.

ASP Kirumira  n’omuwala Naalinya yattibwa nga September 8, 2018 e Bulenga ku lw’e Mityana.

Wabula Kalungi ategezezza omulamuzi wa Kkooti ento e Wakiso, Martin Kirya nti atulugunyizibwa  era nga ayagala naye ayisibwe nga abasibe abalala mu kkomera.

Abubaker Kalungi
Abubaker Kalungi

Mu kkooti, Kalungi agamba nti bamukuba amagulu n’emikono era alumizibwa nnyo kyokka buli mulundi ng’aletebwa mu kkooti, bamusiba enjegere ku magulu n’empingu ku mikono, era afuna obuzibu ku mikono.

Omulamuzi amusuubiza okutwala ensonga ye eri abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe.

Omulamuzi Kirya ayongezaayo omusango okutuusa nga December 12, 2018 oluvanyuma lw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amelia Mukamushaba okutegeza kkooti nti fayiro y’omusango gwa Kalungi yasindikiddwa eri Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) okugyetegereza.

Ebigambo bya Kalungi byayungudde amazima famire ye ne mikwano gye.