Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone ayatulidde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku nsonga z’ekisinde ekya ‘People Power’.

Chameleone bwe yabadde mu kivvulu kya Saba Saba ku Cricket Oval e Lugogo ku lunnaku Olwokutaano, yagambye nti Bobi Wine yagaana okumuwa ekifo ky’okumwanjo mu kisinde ekya People Power era y’emu ku nsonga lwaki tabiriiko.

Wabula Bobi Wine yamwanukudde mu bwangu era yasobodde okweyambisa oluyimba okutegeeza nti Chameleone tategerekeka kuba ennaku ezimu awagira People Power ate neyeekyusa nawagira Gavumenti ya NRM.

Mu kivvulu abayimbi bombi Bobi Wine ne Chameleone buli omu yasiimye muyimbi munne okukola ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino wadde mukusooka baali balwanagana.