
Ebya Sseeka Umar byongedde okumwonoonekera era aba famire y’omukyala Fatumah Najjuma ensonga bazitutte mu kitongole ekiyamba abakyala mu ggwanga ekya Fida.
Omuwala Najjuma agamba nti Sseeka Umar yamukozesa emirundi egyenjawulo oluvanyuma lw’okusala enjala z’engalo n’okuyoyoota ebitundu by’ekyama ng’amusuubiza okulomba dduwa okulongoosa emirimu gye.
Najjuma agamba nti Sseeka Umar olw’obuwoomi obungi ng’ali mu kaboozi yerabira okusiba ttaapu era namutiika olubuto.

Sseeka Umar yagaana okulabirira omwana kyokka yabadde mulwadde okutuusa lwe yafudde ku Lwokubiri ku myezi 9 ne bamusuulira omulambo mu makaage e Nansana.
Omwana yazikiddwa mu limbo y’ebasiramu e Nkoowe olunnaku olwokubiri akawungeezi.
Mu kiseera kino aba famire y’omuwala Najjuma bagamba nti FIDA erina okuyamba omwana wabwe kuba Sseeka Umar yamulemesa okusoma n’okulemwa okulabirira omwana okutuusa lwe yafudde.
Ate Sseeka Umar agamba nti Najjuma mukyala we nnyo era essaawa yonna ayagala bamwanjule mu bazadde.