Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akyamudde ababaka ba Palamenti mu kabaga akamalako omwaka mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Bobi Wine wadde akyalemeseddwa Poliisi okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, asobodde okweyambisa omukisa ogwo okulaga ababaka ba Palamenti nti mu Uganda y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba era abaliko mu kiseera kino.

Wadde yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo, oluyimba “Kyarenga” lwakyamudde abantu bonna bakiriza nti omwana alina Work.