
Abawagizi ba “People Power” batandiise okulumbagana Bebe Cool oluvanyuma lw’okusanyuka nga Poliisi eremeseza Bobi Wine okuyimba ku Boxing Day nga 26, December, 2018 ku One Love Beach Busabala.
Okusinzira ku muwagizi wa Bobi Wine mu ggwanga erya America mu kibuga Boston ategerekeseko erya Kabuye, Bebe Cool alina okwetondera Bobi Wine kuba yamanyidde omusajja alwanirira eddembe ly’abantu.

Mungeri y’emu agambye nti Maama wa Bebe Cool mu kibuga Boston alera baana okufuna ssente ekiraga nti naye ali mu mbeera mbi.
Kabuye abadde omusunguwavu nnyo era agambye nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yeyambisa Bebe Cool okutwala ssente ebweru w’eggwanga okugulirira abantu abenjawulo abavaayo okunafuya Gavumenti.
Ku nsonga ya Bebe Cool okwetondera Bobi Wine, Kabuye asuubiza okukola kyonna ekisoboka okuzibuwaza obulamu bwa famire ya Bebe Cool singa tavaayo kwetondera Bobi Wine mu lwatu.
https://www.youtube.com/watch?v=fz3aAgi7Dtk