
Omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa owa Bajjo Events avuddeyo ku nsonga z’ekivvulu kya Bebe Cool ekya ‘Tondeka Ekiwatule Mutima Gwa Zaabu’ ekyabadde Ekiwatule ku Boxing Day nga 26, December, 2018.
Promoter Bajjo agamba nti Bebe Cool wadde yafuna abantu naye abadigize baali batono nnyo bwogerageranya ku myaka egiyise.
Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool yafunye abantu abali mu 2,000 kyokka myaka egiyise abadde afuna abadigize abali 10,000.
Bajjo era agamba nti ebivvulu bya Bebe Cool byonna biteekebwamu ssente omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni era y’emu ku nsonga lwaki yafunye ssente okuva mu State House wabula mu kivvulu teyafunye ssente.
https://www.youtube.com/watch?v=6t6Joh6NDgE