Omubaka wa palamenti akiikirira Kasambya e Mubende, Gaffa Mbwatekamwa ayogedde amazima nti ssentebbe wekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni amutamizza ebyobufuzi era y’emu ku nsonga lwaki 2021 tagenda kuddamu kwesimbawo.

Mbwatekamwa anenya Pulezidenti Museveni okuwabya NRM ne balemwa okuwereza abantu.

Agamba nti alikomawo mu by’obufuzi nga mwami Museveni avudde mu buyinza.

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Mbwatekamwa era agambye nti ebiseera bye agenda kubimala nga akunga bannayuganda okukozesa buyinza bwabwe obubaweebwa ssemateeka wa Uganda era agenda kweyambisa ekisinde kya People Power.

Ku nsonga y’okuva mu kibiina kya NRM, Mbwatekamwa agambye nti ye memba wa NRM era tewali muntu yenna ayinza kumugoba mu kibiina.