Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine abulidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni amazima ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

Kinnajjukirwa nti Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Mmande nga 31, December, 2018, yalabudde abakulembeze ku ludda oluvuganya okukomya okusiiga Gavumenti enziro n’okulemesa Pulogulamu zaayo kuba tekigenda kuyamba ggwanga era tebajja kubakiriza.

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Mungeri y’emu yabasabye okubeera abalambulukufu mu ntekateeka zabwe omuli okuvuganya, okulemesa, obutemu n’engeri endala.

Wabula Bobi Wine ayanukudde Pulezidenti Museveni nti bavuganya kuba kikirizibwa mu sseemateeka wa Uganda.