Enduulu esanikidde Serena Hotel mu kivvulu kya Eddy Kenzo, Bebe Cool bw’agudde Bobi Wine mu kifuba.

Wadde bangi ku bannayuganda bagamba nti Bobi Wine ne Bebe Cool balina obutakanya, bangi ku bbo basigadde bebuuza embeera ebaddewo mu maaso ga Kattikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

Ekivvulu kya Kenzo ng’aweza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba kisobodde okugata Bebe Cool ne Bobi Wine, ekiwadde bangi ku bannayuganda essannyu.