
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, atendereza omuwala Nshuti Mbabazi okweyambisa ekitone kye okuzaamu bannayuganda esuubi.
Mbabazi yakutte vidiyo ng’ayimba oluyimba “Tuliyambala Engule” ng’asuna endongo, ekiwadde Bobi Wine essannyu.

Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusiima Mbabazi okuvaayo okwolesa ekitone mu kuyimba.
Agamba nti mu nsi yonna abantu beyambisa ennyimba okufuna esuubi.

Mungeri y’emu agamba nti abantu balina okulowooza ku Uganda empya ng’obuyinza bukyuse era bannayuganda bonna balina okusigala n’esuubi.
Bobi Wine agamba nti olwa Katonda, balina okutuuka gye baagala.