
Omuyimbi Lydia Jazmine omwaka 2019 agutandikidde mu maanyi okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.
Omwaka 2018, Jazmine y’omu ku bakyala abakola obulungi ennyo mu kisaawe ky’okuyimba era ku laadiyo 100.2 Galaxy FM, oluyimba lwe ‘You and Me’ lwakwata namba emu (1).
Wosomera bino, Jazmine afulumizza vidiyo y’oluyimba ‘Olindaki” era asuubira lugenda kuvuganya nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.
Oluyimba lwakwatiddwa pulodyusa Butamagical ne Frank Mugerwa owa Jah Live Films.