Omuyimbi Eddy Kenzo atabukidde bannayuganda ku bigambibwa nti ennaku zinno ayimba ennyimba zebatategeera bulungi.
Kenzo agamba nti bannayuganda bangi bagamba nti alina okuddamu okuyimba ennyimba enkadde omuli Akaserengeto n’endala.
Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza nti ayimbira abantu mu mawanga agenjawulo era y’emu ku nsonga lwaki alina okuyimba ennyimba ezenjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti mu kuyimba asobodde okufuna ebintu ebyenjawulo omuli amanyumba, emmotoka era y’omu ku bagagga abalina ku ssente ezisobola okumubeezawo emyaka egisukka mu 10.

Kenzo agamba nti abantu balina okukomya okuzalawa abayimbi kuba kiyinza okunafuya abaana abato abandyagadde okwegata mu kisaawe ky’okuyimba, eggwanga ne lifiirwa talenti.