
Omuwabuzi wa Pulezidenti John Nagenda alagudde nti 2021, Bobi Wine tasobola kuwangula bukulembeze bw’eggwanga lino singa yesimbawo okuvuganya munna NRM Yoweri Kaguta Museveni.
Nagenda abadde ku NBS enkya ya leero, agambye nti abalowooza nti Bobi Wine asobola okuwangula mu 2021, balalu kuba tekisoboka.

Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine bw’aba ayagala obukulembeze bw’eggwanga lino alina okwetekateeka okuva kati emyaka 20, okusobola okwesimbawo mu 2040.
Nagenda agamba nti Bobi Wine y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba mu Uganda kyokka obukulembeze bw’eggwanga ssi bwa kuzanyirako.