Omuyimbi Bobi Wine akyamudde abadigize mu ggwanga erya Jamaica mu kivvulu kya ‘The Rebel Salute 2019′ era bonna Balasita bakiriza nti Uganda erina talenti.

Bobi Wine asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo kyokka oluyimba Freedom lukyamudde nnyo abadigize era obwedda bayimbira wamu.

Ku siteegi, Bobi Wine agambye nti okwogera amazima y’emu ku nsonga lwaki yatulugunyizibwa amaggye mu bitundu bya Arua n’okutta dereeva we Yasin Kawuma kyokka tewali muntu yenna agenda kumulemesa kuba ye mwana wa Ghetto.

Mu ggwanga erya Jamaica, Bobi Wine yawerekeddwako mukyala we Barbie Kyagulanyi era balidde eswaga bombi.

 

 

https://www.youtube.com/watch?v=MNyRbKMDfy8