Omuyimbi Fik Fameika aliira ku nsiko oluvannyuma lw’okulemwa okuyimba mu kivvulu gye yabadde alangiddwa mu bitundu bye Bujjuko ku Horizon Gardens.
Omutegezi John Kabanda agamba nti yawa Fik obukadde 10 okusobola okuyimba kyokka ku lunnaku lw’ekivvulu teyalabika ate manejja we Kama Ivien yagaana okukwata amassimu.

Kabanda agamba nti abadigize bavudde mu mbeera olwa Fik obutayimba ku Ssande nga 20, Janwali, 2019 era ebintu bya Horizon Gardens omuli TV, eby’okunywa omuli sooda, omwenge, obutebe n’ebirala ebibalirirwamu obukadde 50 byayonooneddwa.

Mu kiseera kino omusango gutwaliddwa ku Poliisi y’e Nansana, Fik ne manejja we Kama Ivien banoonyezebwe bakwatibwe.
Wabula Fik asambaze ebigambo ebyogerwa nti asukkiridde obutayimba mu bivvulu. Agamba nti omwaka oguwedde ogwa 2018, balina ebivvulu ebisukka mu 350 era basobola okuyimba kyokka mu mwaka gwonna, tebaweza wadde ebivvulu 10 bye basubiddwa, ekiraga nti ayimba nnyo.