Omubaka w’abakozi mu palamenti Dr. Sam Lyomoki alangiridde okwesimbawo okuvuganya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni mu kamyufu k’ekibiina.

Dr Lyomoki nga yegattiddwako omubaka we Maracha James Acidri agamba nti balina okutumbula dimokulaasi mu kibiina kyabwe ekya NRM era ku mulundi gunno, tebalina kukiriza Museveni kwesimbawo yekka.

James Acidri ne Dr. Sam Lyomoki
James Acidri ne Dr. Sam Lyomoki

Agamba nti dimokulaasi mu NRM kigenda kulaga bannansi nti dimokulaasi yeyongedde mu ggwanga singa Museveni anakiriza okuvuganyizibwa.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Palamenti Dr Lyomoki agamba nti asinga afuna obuyinza, alina okukomyawo ebisanja bibiri (2) ku mukulembeze w’eggwanga, okulwanyisa enguzi mu ggwanga n’ensonga endala.