Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze ku kyalo Nalado mu katawuni k’e Budaka mu Disitulikiti y’e Budaka omwana myaka 2 bw’afiiridde mu kinnya kya kazambi.

Okusinzira ku Poliisi omwana afudde abadde mulenzi era ategerekeseko nga Abdul- Rahman Medei ng’agudde mu kinnya kya fuuti 10.

Ate maama w’omwana Hamida Nantume wakati mu kulukusa maziga, agambye nti mutabani we abadde agenze kuzannya ne banne, kyokka alabiddewo okumutegeeza nti omwana afudde.

Amyuka akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Budaka Moses Bavekuno agambye nti omulambo gukwasiddwa famire okuziikibwa nga Poliisi bw’enoonyereza okuzuula, ekivuddeko omwana okugwa ku kinnya.

Bavekuno era agambye nti nannyini kinnya ekya kazambi mukyala Teddy Samali musomesa wa pulayimale era agiddwako sitetimenti, egenda okuyambako mu kunoonyereza.

Ate ssentebbe wa LC 111 mu Disitulikiti y’e Budaka Rogers Mukose, avumiridde eky’abatuuze abalina ebinnya bya kazambi abalemeddwa okubikako, ekivuddeko omwana okufa.