Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama nti obulagajjavu mu kitongole ekya Poliisi y’emu ku nsonga lwaki Maria Naggirinya ne ddereeva we Ssaalongo Ronald Kitayimbwa battibwa.

Nagirinya yawambibwa e Lungujja mu kiro kya August 28, ng’ali ne Kitayimbwa eyali amuvuga. Emirambo gyabwe gyazuulwa ku Lwokutaano nga August 30, e Nakitutuli-Nama mu Mukono.

Wabula Museveni asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okunokolayo eggwanga ku kyavirako Naggirinya ne Kitayimbwa okuttibwa.

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Museveni agamba nti abasirikale ku kkamera e Nateete baali beebase ne balemwa okulaba abatemu, abaawamba Nagirinya ne Kitayimbwa kuba singa baalaba, baali basobola okuteegeza ku basirikale abali mu kulawuna (999) ne Poliisi ku nguudo ez’enjawulo, okubalondola n’okukwattibwa nga tebanatta muntu yenna.

Mungeri y’emu agambye nti abasirikale bonna abaalagajjalira emirimu gyabwe, bagobwe mu kitongole ekya Poliisi ate bakangavulwe mu mateeka.

Museveni agamba nti abasirikale abagobeddwa mu Poliisi, tebalina kuddamu kufuna mulimu gwonna mu kitongole ekya Gavumenti.

Pulezidenti era agamba nti n’okuttibwa kwa Joshua Rushegyera n’omukyala Tumukunde Merina sabiti ewedde ku Entebbe Expressway, kyalimu obulajjavu bw’ekitongole ekya Poliisi wabula okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Museveni akaatiriza nti abatemu, abenyigira mu kutta abazzukulu basiru nnyo era mbizzi, ezigenda okunoonyezebwa zikwatibwe.

Museveni era agambye nti bannayuganda bangi abanoonya emirimu, abasobola okuweereza obulungi mu kitongole ekya Poliisi era abasirikale bonna bateekeddwa okweddako mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

Mu kiwandiiko kye, Museveni era agambye nti abatemu bonna abeenyigira mu kutta bannayuganda baakukwatibwa omuli abatta Kagezi Joan eyali omuwaabi wa Gavumenti eyakubwa amasasi nga 30, March, 2015 e Kiwatule, Kampala, Basheikh n’abantu abalala mu ggwanga.