Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku emmundu eyakozesebwa okutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira.
Kirumira yattibwa nga 8, September, 2018 okumpi n’amaka ge e Bulenge ng’ali ne mukwano gwe Resty Mbabazi nga bonna baakubwa, amasasi agattirawo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga emmundu eyatta Kirumira tebanagifuna.
Enanga agamba nti Poliisi yakwata abantu babiri (2) ku by’okutta Kirumira ne Resty Mbabazi okuli Abubaker Kalungi ne Hamza Mwebe era bali mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu.
Mungeri y’emu Enanga agambye nti mu sitetimenti ya Kalungi ne Mwebe, bategeeza nti emmundu baagipangisa ku Abdul Kateregga, eyattibwa abasirikale ba The Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) e Namungoona, Kampala bwe yali adduka abakuuma ddembe abaali bageenze okumukwata.
Enanga agamba nti okuttibwa kwa Kateregga y’emu ku nsonga lwaki emmundu eyakozesebwa okutta Kirumira munne Resty Mbabazi ekyabuze.
Kirumira yafiira ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police (ASP).
Ebimu ku bigambo bya Muhammad Kirumira ebyamufuula owaamaanyi kuliko
– Sigenda kudda mu poliisi kubakolera okuggyako nga pulezidenti Museveni yennyini y’ampise.
– Ndekulira mu poliisi olw’okutulugunyizibwa, buli kiseera munteekako emisango. Kale nze omubi kahhende mbalekere ba Kitatta ne Sobi, eggwanga lino nsobola okuligattako ettoffaali nga ndi mu kifo ekirala ng’omubaka wa palamenti.
– Okukwata Gen Kale Kayihura kisobola okuyambako okumalawo ettemu kyokka mu poliisi kawukuumi akyalimu mungi.
– Bwe wabeerawo ekyetaagisa okufiirira eggwanga nze nja kugenda, lyo lisigale. Nabagamba mu poliisi mulimu ababbi ne bawakana, nze nasooka okuwa pulezidenti Museveni lipooti nti mulimu ababbi nga Abdul Kitatta owa bodaboda 2010 n’abalala.
– Nze seetaaga bakuumi Allah yekka y’amanyi.
– Mufube nnyo okulaba ng’ekifaananyi kya poliisi kitereera si kwekangabiriza. Ndaba engeri gye mukwatamu bodaboda mubakwata bubi, gye mukutte leero n’enkya mugiddamu… mujja kubisasulira n’ebirala.