Poliisi yakakwata abantu 4 ku by’okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa.
Nagirinya ne Kitayimbwa, baawambibwa August 28, 2019 emirambo gyabwe ne gizuulibwa e Mukono mu lusenyi lw’e Nakitutuli – Ttakkajjunge mu ggombolola y’e Nama nga August 30, 2019.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate kuliko Kasolo Copriano amanyikiddwa nga Arsenal, Johnson Lubega (Rasta), Kisekka Hassan (Masada) ne Kalyango Nasif (Muwonge).
Enanga agamba nti bonna abakwattiddwa buli omu alinako kye yakola okutuukiriza eky’okuwamba n’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti.
Mungeri y’emu agambye nti abaakwatibwa baatwaliddwa ew’omusawo wa poliisi okubeekebejja embeera y’obulamu bwabwe ne kizuulibwa nti bategeera bulungi era tekuli mulwadde wa mutwe.
Mungeri y’emu agambye nti poliisi yabatutte mu maaso g’abalamuzi ne bakola sitatimenti nga balaga nti beenyigira mu kutta abagenzi
Enanga era agambye nti waliwo abantu abalala babiri (2) nga bonna bavuga bodaboda poliisi b’enoonya ng’egamba nti baliko kye bamanyi ku ttemu eryakolebwa ku Nagirinya ne Kitayimbwa.
Nagirinya yazaalibwa February 28, 1990. Nnyina Allen Lunkuse yafa wa myaka ena.
Mu 2017, yayanjula bba Edagr Gateni, mu maka ga bakadde be Antony Francis Lubowa e Kibuye, oluvannyuma ne bakola embaga mu October, 2018.