Bya Nalule Aminah
Poliisi mu Kampala esobodde okusuuza abasajja Ente, eteeberezebwa nti yabadde ebiddwa.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, mu bitundu bye Banda, abasajja olwalengedde Poliisi eyabadde erawuna ku luguudo lwa Kampala – Jinja, basuddewo emmotoka eyakazibwako “My Car” namba UAL 769W ne badduka ku ssaawa nga 8 ez’ekkiro.
Abasirikale mu kwekebejja emmotoka, mwasangiddwamu Ente egambibwa nti yabadde ebiddwa nga n’emmotoka eteeberezebwa okuba nga nayo nzibe.
Ente n’emmotoka byonna bitwaliddwa ku Poliisi ku Jinja Road.
Oweyesigyire agamba nti Poliisi, etandiise okunoonya nannyini mmotoka kuba kigenda kubayamba nnyo okuzuula abagibaddemu abadduse n’okuzuula ekigendererwa kyabwe.