Poliisi y’e Bulambuli eri mu kunoonya omusajja myaka 30 ku by’okuta mukwano gwe nga kivudde ku ssimu eyabuze, nga bali mu bbaala, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Robert Tukei, Rogers Wetaka nga mutuuze ku kyalo Bukadala mu ggombolola y’e Bumasowo yafunye obutakaanya nga bali mu bbaala ku kyalo Kisabasi mu katawuni k’e Bumasowo ne mukwano gwe Kenneth Jiga myaka 28 ng’amulumiriza okubba essimu ye
Wetaka yakubye Jiga ekikonde ku mutwe oluvanyuma namufumita ekyambe ekyavuddeko okufa kwe olw’omusaayi omungi ogwamuvuddemu.
Poliisi egamba nti Wetaka aliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’okutta omuntu era singa akwattibwa, essaawa yonna bakumutwala mu kkooti.