Omulamuzi wa kkooti ku luguudo Buganda, Stella Amabirisi, ayongezaayo omusango oguvunaanibwa abantu 6 abakwatibwa ku by’okukuba omulamuzi Gladys Kamasanyu akacupa k’amazzi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 2, Ogwomunaana, 2019, abavunaanibwa okuli Augustine Ojubile, Waiswa Abdullah, Moses Katumba, Zaina Abenabyo, Simon Wanyera ne Joel Kabali baakuba omulamuzi Kamasanyu akacupa k’amazzi bwe yali asingisizza eyali omussomesa ku yunivasite e Makerere Dr. Stella Nyanzi omusango ogw’okukozesa obubi emikutu gy’empuliziganya n’okuvvoola omukulembeze w’eggwanga era n’amusiba emyezi 18.

Mu kkooti, munnamateeka wa Ojobire ne banne Isaac Ssemakadde asimbidde ekkuli, eky’okuvunaana abantu be omusango gw’okukuma mu bantu muliro kyokka oludda oluwaabi lukyalemeddwa okutegeeza kkooti engeri gye baakikola.

Okwemulugunya kwa Ssemakadde, kuwaliriza omulamuzi Amabirisi okwongezaayo ogwo okutuusa ku Lwokutaano nga 8, November, 2019.