Poliisi mu ssaaza lye Kano mu ggwanga erya Nigeria eriko omusajja gwesindise mu kkomera okumala emyaka 14 lwa kusobya ku mwana myaka 7.

Ayuba Musa myaka 24 yasindikiddwa mu kkomera, omulamuzi wa kkooti enkulu A.T Badamasi.

Mu kuwa ensala ye, omulamuzi agambye nti kkooti efunye obujjulizi obwetaagisa, okusingisa Musa omusango gw’okujjula ebitanajja.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Tijjani Ibrahim, lugamba nti Musa yasobya ku mwana nga 19, Ogwokuna, 2016 bwe yamutwala mu kazigo ke namusobyako.

Musa akirizza omusango, kwekusaba omulamuzi ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina okulabirira abantu be omuli ne nnyina omukadde ate nga mulwadde.

Omulamuzi awuliriza okusaba kwe kwe kumusiba emyaka 14.