Abawabuzi ba kkooti babiri (2) basabye omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Vicent Okwanga abasajja 8 abaakwatibwa ku misango gy’okutta Isaac Kalanzi n’okubba emmotoka ye, emisango gibake mu vvi.
Abavunaanibwa kuliko Serwanga Alex, Okongo Julius, Kaliisa Ronald, Masinde Michael, Serunjogi Geoffrey n’abalala basatu (3) nga bali ku misango gy’okutta Kalanzi nga 21, Ogwokutaano (May), 2015 e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso n’okubba emmotoka ye ekika Ipsum namba AUW 342W.
Okusinzira ku bujjulizi mu kkooti, abasajja baali babiri (2) nga bakutte bayibuli mu ngalo ne baggya Kalanzi ku siteegi e Namugongo okubatwala ku kisaawe Entebbe nga bagamba nti bagenda kubuulira njiri mu ggwanga erya Nigeria nga beeyita basumba.
Kigambibwa webatuuka e Kajjansi ne bamutegeeza Kalanzi nti baliko Pasita omulala gwe bageenda okukima kyokka gye baamuttira.
Mu kkooti, abawabuzi abagambye nti obujjulizi bwonna obwaletebwa bulaga nti, abakwate benyigira mu kutta Kalanzi n’okutwala emmotoka ye.
Mungeri y’emu bagambye nti omujjulizi Yiga Mubaraka mu kkooti, yasobodde okulaga abatemu abenyigira mu kutta Kalanzi, ekiraga nti bebatemu.
Bagambye nti omujjulizi Yiga Mubaraka mu kkooti, yasobodde okulaga abatemu abenyigira mu kutta Kalanzi, ekiraga nti bebatemu.
Wabula bonna abakwate, begaana emisango gyonna omuli okwenyigira okutta Kalanzi ssaako n’okubba emmotoka ye.
Omulamuzi bonna abasindise okudda ku limanda e Luzira okutuusa olunnaku lwe banafuna ekibonerezo.